Ezekiel 32:2-3

2 a“Omwana w’omuntu, tandika okukungubagira Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, omutegeeze nti:

“ ‘Oli ng’empologoma mu mawanga,
ng’ogusota wakati mu nnyanja,
ng’owaguza mu migga gyo,
era ng’otabangula amazzi,
n’osiikuula n’emigga.
3 b“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndikusuulako akatimba kange,
ne nkusindikira ekibiina ky’abantu ekinene,
era balikuvuba n’akatimba kange.
Copyright information for LugEEEE